St. Martin Secondary School Mpigi

[featured_image]
Download
Download is available until [expire_date]
  • Version
  • Download 16
  • File Size 8.06 MB
  • File Count 1
  • Create Date July 14, 2021
  • Last Updated July 17, 2021

ST. MARTIN DE PORES

Chorus:

St. Martin de Pores omuwolereza w’essomero lino:
St. Martin Secondary School e Janya – nze gwentenda
Omulimu gw’okola gwa tendo; owolereza nnyo
essomero lyaffe, N’otusabira ewa Kitaffe tuwangule!
Omulimu guno gwewatandika, tugukwasa ggwe
ow’amaanyi Ggwe awolerreza abali mu bizibu
ebitatadde.
Essomero lino ggwe lisenvuze, ng’olissa mw’ago
ag’amaanyi, Agasinga: as “Strive for Excellence”

Verse 1:
Wazaalibwa Lima mu Peru; wakulira ggwe mu bwavu,
Wasuulibwawo olwo nno ne weeyimirizaawo. Wegomba
nnyo eb’y’okuyiga, wajjanjaba abalwadde,
Olwo n’oyingira mu kibiina ekya Bannaddiini (ba
Dominican) Wayamba nnyo ggwe abaavu,
Walabanga Kristu mw’abo bonna abaalina ennaku;
abalwadde n’abajeera. Weeresanga ebirungi;
wasiibanga nnyo n’okukkiriza okutasangika –
n’okukuuma.

Chorus...

Verse 2:
Tusiimye nnyo ebirungi by’otukoledde enfaafa,
Tukwebaza nnyo otukuumye n’otubudabuda.
Otutambuzuzza gino emyaka; tukwenyumirizaamu
Kitaffe, Otutaasizza endwadde, obubenje n’emiteeru.
Otunywezezza ffe mu ddiini, n’amayisa amalungi,
Otuvvuunusizza obuggya, obukyayi n’enge.
Ffe abayizi bo tuyambeko; tulwane masajja tuwangule;
Mu misomo egyaffe: tuyitimuke, mu ssomero lino lye
walonda! Bye tuyize ffe nno bitugase, n’okuyamba ensi
yaffe, N’ababonabona; anti Kristu ali mu abo (abaavu)

Omulimu guno gwewatandika, tugukwasa ggwe
ow’amaanyi Ggwe awolerreza abali mu bizibu
ebitatadde.
Essomero lino ggwe lisenvuze, ng’olissa mw’ago
ag’amaanyi, Agasinga: as “Strive for Excellence”

Verse 3:
1. St. Martin tuwolereze tufune amaanyi (tuwolereze!)
2. Ffe tukusingidde essomero lyaffe likule Taata
(tuwolereze!)
3. Ffe ab’e Janya tusabirenga tummanye Omukama
(tuwolereze!)
4. Abasomesa baffe bayambeko bafune ebingi
(tuwolereze!)
5. Abayizi bonna bayambeko bafune amagezi
(tuwolereze!)
6. Abalwadde bonna bawolereze bafune obulamu
7. Goba obwavu bwonna bazadde baffe bafune
ensimbi (tuwolereze!)
8. Essomero lyaffe likwateko, lijune Taata
9. Mikwano gyaffe gissaasire bamanye eddiini
(tuwolereze!)
10. Bannaddiini bonna balambike babunyise Evvangiri
(tuwolereze!)
11. Abasawo bonna Taata bakwateko basobole
okuwonya (tuwolereze!)
12. H/M waffe mutukuumire omuwe obulamu
(tuwolereze!)
13. Ekitundu kyaffe eky’e Janya kiyitimuke Taata
(tuwolereze!)
14. Abafuzi baffe bayambeko bafuge eggwanga
(tuwolereze!)
15. Ffe tukusingidde essomero lyaffe likule Taata
(tuwolereze!)

Chorus...