- Version
- Download 15
- File Size 8.69 MB
- File Count 1
- Create Date July 17, 2021
- Last Updated July 17, 2021
JJANGU OLABE ESSOMERO
Intro:
Mu Mawokota tukizudde essomero eryesigika lyokka –
lye lino Tolonzalonza ggwe jangu nze nkutwaleyo – ku St.
Martin.
Chorus:
Jangu eno ojje olabe lino essomero;
St. Martin Secondary School, kye nkugamba nti y’esinga (e
Janya) Mu g’obadde omanyi n’ago era g’otomanyi;
Nsanzeeyo ebirungi, n’ebyewuunyiza nga bingi (tuukayo
olabe) x2 nnyo.
Verse 1:
Mpirimpye, nakeera nkya nzije ndabe lino essomero,
Naliwulirako ku radio nga bagamba ly’eririko (sirudde)
Ntuuseeyo ne ndaba neyongedde okumanya; Mbuuzizza
ne njiga, neyongedde ne nkakasa, Mpiseeyiseemu ne
nambula nezuulidde amazima Nsomeddeyo ne njiga; ge
ngamba ge mazima; Sirimba; ne radio teyannimba, liri
excellent; Sirimba, n’amaaso tegannimba – tuufu nnyo!
Chorus: ……
Verse 2:
Abasomesa ab’omulamwa abatasangika gye mbadde
Abayizi ab’empisa ezijjudde, ezitasangika gye mpitira
Eddiini n’okutya Katonda oli, y’ensimbuko y’amagezi
gendabayo, Emmere nkugambye eby’obulamu;
n’omusawo nno abeera muli Ebizimbe enkumu
ebitemagana, ensoma n,ensula byansanyusizza; Oluzungu
lwetufuuwa, lwammazeeko nze n’ebyewungula!
St. Martin wajja nnyo nga tosangika x2
Chorus: ……
Verse 3: (a)
Abaalizimba baaliwunda, ne balissa ku mutindo guli;
Kampala Archdiocese – ne balissa ku mutindo ddala
ogw’e Kampala; Gwe musingi ogunywedde!
Abasomeddewo be balitenda; ggwe nkubuulire
ky’otomanyi Lyabagunjula ne libatuusa ku University ne
bayitayo; Balyenyumirizaamu nnyo – kale ggwe olinze
ki?
(b) Amagezi ag’ebitabo n’ag’eby’emikono tugafunayo
Technology gw’owulira asibuka wano n’asasaana.
Laboratory ezijjudde; mu bya Science tuli ba kabi,
Emizannyo g’omanyi ne gy’otomanyi ogisanga wano ku
St. Martin. Oyo Katemba n’obutonde bw’ensi tubiyiga ne
wewuunya!
Obugunjufu n’empisa zaakwo tubiyize nnyo nga
tubiggya wano; St. Martin wajja nnyo nga tosangika x2
Break: ……
Verse 4:
1. Mu Mawokota tukizudde essomero eryesigika
lyokka – lye lino
2. Tolonzalonza ggwe jangu nze nkutwaleyo – ku St.
Martin.
3. Wokotawokota; jangu eno mu Mawokota tusome
(fenna)
4. Wasanyusa nnyo; jangu mu banguliro – ku St. Martin.
5. Weyagaza nnyo; jangu eno mu kalimiro tuyige
(leero)
6. Okyamira Mpigi, ewaffe n’otuuka – ku St. Martin.
7. Parish y’e Mpigi y’eyaffe etutwala y’eyo (sirimba)
8. Ku kyalo ky’e Janya, ng’otuuse n’obuuza – ku St.
Martin.
9. St. Martin y’efuuse entabiro kimanye (kimanye)
10. Ate ebifo biggwawo olina ggwe genderawo – ku St.
Martin.
11. N’abatukyalidde boogedde amazima geego
(gokka)
12. Nti essomero erisomesa ebituufu baalifunye – ku St.
Martin.
13. Tubeebaza nnyo abakulu abalikulira bavumu
(beebale)
14. Be balifudde nno okubeera namba emu –St. Martin.
St. Martin wajja nnyo nga tosangika x2
Chorus:…